bwentunulira abato,nkaaba
empisa ezomubantu ennungi balizijjawa?
bwakoppa ezamaama we ,
ayiga bwakyanganya abasajja
bwakkopa eza taata we ,
ayiga obwenzi ne ettamiiro
bwakkopa abakulembeze,
ayiga kulimba na kulya nguzi
kale bwentunulira abato nkaaba,
chorus
tuwa kyakulabirako eri abaana abato,
gwomanye nti buli kyokola,
kibaamu ekifaananyi ekirunji,
ebyo byemuwoza bawaba dda
mubireke tebirina mugaso,
bwetuba twagala obatereza
balina kulabira ku gwe nange
obuto obusoma mubusiiya
amabujje mugasaddaka
abasumba endiga baziganza
belimbika mu kutereeza ensi
buli muntu akebere omutima
alabe oba ddala kyakola
abaana abato bwebakikkopa
kibayamba okuba abalunji
chorus
bwobikula amawulire oswala
nosoma nti omunene yabye
oba olowooza bakulimba
bagenda omubuuza nga kyekyo
chorus
waliwo nabasabye abakungu,
batongoze akugyamu embuto
mbu bo ebintu bya ssente oba
bizibu nnyo bijja batawanya
yadde tuli mu democracy
naye tusaasire abato,tubayambe
siyombye nsabye busabi
tuwa kyakulabirako eri abaana abato
gwomanye nti buli kyokola
kibaamu ekifaananyi ekirunji
Lyrics provided by https://damnlyrics.com/