damnlyrics.com

Ekitiibwa Kyo Mukama

Laba Mukama Kabaka Katonda Owe Jje Wuyo Atambula

Nga Akoma Kubaana b’ Abantu

Enjjegere Zikutuka Abantu Bassumululwa Ono Ye Mukama

Eyatondo Eggulu n’ Ensi

Laba Emunyenye Ez’ Omubbanga, Omwezi n’ Enjuba

Bimusinza Bimuvunamira Oyo

Katonda Omulamu Oyo Bwanyenya Ensi eno Ogusembayo

Kusaawa Envanyuma Nga Assumulula Abantu Be

Ekitiibwa Kyo Mukama Tewali Akyenkana

Ekitiibwa Kyo, Kireetawo Enjawulo,

Tewali Akyenkana Mukama Katonda w’ Eriya

Ekitiibwa kyo Kiteesa Omuyaga Gwange

Sinayi Bweyalaba Ekittiibwa Kyo Mukama n’ Evaamu

Omuliro, Enyanja Emyuffu Teyalinda, n' Eyeyawula

Yoludaani Yakyuuka Bwe Yalaba Ekittiibwa Kyo Mukama

Ensi n’ Ekaakana Buli Kitonde Kyonna Kya Vunama

Ekitiibwa Kyo Mukama Tewali Akyenkana

Ekitiibwa Kyo, Kireetawo Enjawulo,

Tewali Akyenkana Mukama Katonda w’ Eriya

Ekitiibwa kyo Kiteesa Omuyaga Gwange

Kaana Omugumba Bweyalega ku Kitiibwa Kyo Mukama

Olubutto Olugumba ne Luvaamu Akaana Akalenzi

Simanyi Kizibu Kyo Naye ate Bw’ Okiriza, Mukama Asobola

Kubanga ekitiibwa Kye Kiteesa Embeera yonna

Ekitiibwa Kyo Mukama Tewali Akyenkana

Ekitiibwa Kyo, Kireetawo Enjawulo,

Tewali Akyenkana Mukama Katonda w’ Eriya

Ekitiibwa kyo Kiteesa Omuyaga Gwange

Lyrics Submitted by Derrick Mulema

Enjoy the lyrics !!!