damnlyrics.com

Dipo Nazigala

Nze ne leero navude eyo eBukunja gyemutya nga nzija ngwirana ne guitar nzize kutabaaza njiri

Nafuuka muntu mulamu baana ba'ssebo eyali omukooni we'ndigi zona dipo nazigala

Nga mukumpomera gwenyenyeza no'wulya ne'ngunywa na'bagutunda ndeka bakutte ku tama

Nga abo abatya waragi mbatibiriza entege nga anti tumuwuta no'kukira suupu we'nkoko

Gwabanga mukomyogo oluusi tukeera mu nkoko ffe doola tetwegonza nga anti tuli balenzi ba nusu

Nga ngusunda ne'kyalo nenkimatiza era okugwa mu ba seya nze gwo'laba mpitwa ssebo

Nga ndina ekiwanga ki lugabika bitya okutamiira ne bbiya obuccupa nga nsika assatu

Nga tumasamasa kukira bisiko bya nnyange ffe totuyita ba buyonjo bu mponeka ku mikolo

Netweyagala netulumya buli kyebayita kitonde ku nsi ya mukama ekiwulira nti kyatukyawa

Nga tuli ba maanyi okusinga ku sabbasabba nga era bwotwenganga ekikonde tukikiza ppege

Twali kabwa na'ngo na'bafuuwa sigala mutufumulira ffege tukwamula ekikuwujja

Hoooo

Atakulaba ya'kugaya

Twakyakaza obulamu

Twabonyabonya ebiwato

Twadigida omuziki

Twayayanya ebiwala

Banangeeeee

Gwali mwenge...

Temundaba ebiseera bino okukyayibwa enkumu ssebo nali muganzi wo'lulyo olulangira

Nga nkugambye ngenda nentaba eBukunja gye'mutya nembanga omuyaga ngobako bwegutabangula abo'lunyanja

Mu ddobozi lyange lino erye'mpolampola mukama lyeyangemulira nga oluusi mbeera ne guitar

Nendya mu ndago ebiwala nebigya birigita nga atalina bbina wakiri akunya omugongo mulabe

Ddobozi lyange bwelityo anti lya mpolampola mukama lyeyangemulira okuwataganjula enjiri

Banange omwenge ngunywede nengumatira naye teri kalungi kendabye mu kigambo mubisi

Siringa avumirira oba okujerega abanywa naye nkusaba otege okutu ssebo nkulojera mubisi

Omwenge mperekeze ya sitaani eya namadala oba muyite omubaka gwasooka okuweereza mu banywa

Ate omubaka oyo amwesiga kyo'tonalaba bwakuba siyasa ku kikumi wafika babiri

Ye sitaani nagenda okutaba mu banywi ekyenda mwo'munana nga bonna bamufuyiira mirere

Naalamula nga mpawo amukuba kumukono okujjako ye okwekya neyekwatira mu lwe'ngabi

Vva ne ku tamiiro luri luguudo lwenyini sitaani mwajja atuyita ffena okugwa eddalu

Ekintu ekikuyisa wo'sula ate no'jja opaala ogende okonkone gyo'tomanyi gubeera mugomyo

Gukukwata newezira kigambo mukazi kukusala mu maaso buba bukya ate no'byejjusa

Gulina no'tuzi tweweyuwako okunabuka ensonyi gwo tegulina gwegutiisa maaso muzira namige

Omwenge

Eyaguyiiya asobola

Tugunywa gusanyusa obulamu

Naayeeee tegututawanyiza neyano wuwo

Mubutuufu omwenge ngunywede nengumatira naye siganyudwamu ndabye ntamiridde bbule

Gwo teguliko ssente ebeera egumala kuba oguwera ku mutwe gwegulamuza ogukyali mu malebe

Bweziralira ensawo afazaali ogabula engabule loodi omanyise dduniya bwooli omulenzi we'nusu

Ate nze gwantama kwooya baganzi ku bbali era guwomera jjolo nga waliwo gwayita mummy

Mu kade ako akumiira eka afuuka kikazi nga anti wo edakiika zo ku mubisa gwe kigwo mubule

Oh nakyo nekyanukula kivevenga daddy ensimbi no'fukumula olabye ekigambo mubisi

Katino bagutusaba ebiri ogumugulira okugunywa oluvanyuma nga ezo kugumuvula ono'zimuwa

Mwatu gumanyi no'kuziba omwoyo gwe'mmere gwe loodi nogoya ndigi gwe gwo gusikambula body

Beebo bosanga nga afanana nga ogwaluma nzere nembubugu mubusikutu bwe'mpale

Teguliko bulamu bwa nsobi nebwewekona kagere olusinzituka nebwoba mulamu bakulangira mubisi

Nti anti etamiiro ahaaaa

Omwenge

Akyagunywa neyagukyawa

Na'subira oguyiga wesibe ssatu...

Mubutuufu mekese ammaazi wansi we'njuba naye ntamiridde bbule teri kenagya mu mubisi

Abayivu bagukeera no'gya ogamba nti degree zabagwako baziwenja mu buccupa

Ate tebakulimbanga nti gwe afuga kigambo mubisi biba biwanga nga ebimu byo basala layirwe

Nosanga oli nga eyo enyindo ogifumba endeku ogenda oginyulula nga enyonyi zimukungula empeke

Omulala nga obugilaasi ye awuuba buwuube omulabi neyewunya nti ye oba alina wabusibira

Kyebayita nga over kwe kukya nga gukugoya eyabadde nga omuntu nga wereeze nga olukoba lwa guitar

Awo tewaba mulimo oba nga mulwaire wa nseke akameeme nekamala kakukuba anti no'butunda onywa ne'ddebe

Kirina lwa mpaka gwe agunywa neyagukyawa nti kyo kigambo mubisi abanywa tutamirira bbule

Gututuusa ku bingi nkumu gubafuula mu mpisa abadde omuntu no'jja otaama okwenkana enjukki

So bweguba gwa kigero gulina kyeguyamba kuba mmanyi emirimu bwatekamu akwaasa bukwako

Naye kiwomereze bwatyo

Ngamba kasita asuka

Osengejja nga enku

Gutufuula ebyeyolera

Omubisi...

Lyrics Submitted by Henry Lukooto

Enjoy the lyrics !!!