JUDITH BABIRYE-YENZE - Judith Babirye
| Page format: |
JUDITH BABIRYE-YENZE Lyrics
[V1]
Dala yenze, Nze gwe wali ononya
mukubonabona kwo, nze gwe wali ononya
Ebitibwa wabirina, byona wabireka
Eno ensi nokujula kwayo, byona bibyo.
[V2]
Egulu walireka, Nofuka omuntu.
Omwavu, Omunaku asembayo.
Bambi watambulanga, Walina ekya-ama mundayo.
Yenze, Mukama gwewali ononya.
[C]
Nze eyali ensonga, mukubonabona kwo
Yenze, Mukama gwe wali ononya.
Tewali wo nsonga ndala, Mukama kubonabona.
Yenze, Mukama gwe wali ononya.||
Nze eyali ensonga, mukubonabona kwo
Yenze, Yesu gwe wali ononya.
Tewali wo nsonga ndala, Mukama kubonabona.
Yenze, Mukama gwe wali ononya.
[V3]
Nebakukomerera, Agasumali agawanvu
mubibatu byo, nga tewali kusasira
Mumaziga go, Waliwo gwe wali ononya,
Mukama yenze, nzuno gwe wali ononya nzize.
Lyrics Submitted by Musa Kibonde