Mulamu Wange - paul kafeero
| Page format: |
Mulamu Wange Lyrics
MULAMU WANGE by Josephine Ndagire aka Nabitaka.
Nkikakasa obuyimba bwenabawa bw'abanyumira bantu bange.
Kuba n'abanjozaayoza mbalaba bangi era bakyagya.
Ate temuterebuka ebizibu byamwe mbimanyi bweso.
Nja kubatagguluzaako abalabe bamwe temujulanga.
Wabula n'abayimbira siri bulungi, ensi entawaanya.
Omanyi yo yabulako kwetereeza, nange bwendi.
Naye,temwekubagiza kubanga b'ebonyabonya nkuyanja.
Tofanga gwebagusalira mwana wange nti bagusinga...nedda nedda.
Abakazi ebitunyiga nga nkuyanja mu bufumbo bwaffe.
Olumu by'ebisigaza abamu ku luggya nebatatwalwa.
Ye nno k'afunawo ensimbi z'alya, oyo tatawaana.
Mubanenya mulekamu kubanga gye badda ssi ntereevu.
Okufuna we yeegeka oluba mu bwavu, kyo sikyangu.
Bwemufuna kye bakuwa ng'okusiima muggya wo ate.
Kati tufumbirwa lulyo biro bino, sso si muntu.
Abantu b'omusajja bw'olaba bawuttufu awo totawaana.
Kisinga lw'obonaabona ye ng'azaaye, bino bikooya.
[Chorus]
Nze nkimanyi nti nafuuka wa musaayi gwamwe mulamu wange.
Kyokka nenkudagira obunaku bwange, n'otofaayo.
Bwotyo ggwe abonyabonya obulamu bwange, nkwatulidde.
Nze nkimanyi nti nafuuka wa musaayi gwamwe, mulamu wange.

Wabula n'abatuwasa mbasabye namwe, okutuyamba.
Simanyi bwemutubala baami baffe, naye mulimba.
Ab'enganda b'olina obamanyi bangi, n'okuba awo.
Teri na lw'otetenkanya kufuna wo dda, kwegazaanya.
Kkiriza nti ebiyinula abawala bingi, mukumuganza.
Aba asuubira naye kufuna ku ddembe yefuge nga.
Amazzi n'obatindira teri na yekubamu kuyita mugga.
Ne bannyoko ne bazira ekiyungu labayo mbu wawasa ggwe.
[Chorus]
Kyokka nenkudagira obunaku bwange, n'otofaayo.
Bwotyo ggwe abonyabonya obulamu bwange, nkwatulidde.
Nze nkimanyi nti nafuuka wa musaayi gwamwe, mulamu wange.
Kyokka nenkudagira obunaku bwange, n'otofaayo.
Bwotyo ggwe abonyabonya obulamu bwange, nkwatulidde.
Nze nkimanyi nti nafuuka wa musaayi gwamwe, mulamu wange.
Kyokka nenkudagira obunaku bwange, n'otofaayo.
Bwotyo ggwe abonyabonya obulamu bwange, nkwatulidde.
Mulamu wandibaddemu amagezi mangi, naye toyiiya.
Ssiraba kikubagula n'odda kunze, okunvuma nga.
N'effutwa erikuliko nalyo lisuffu, terirabwanga.
Okwesiba ku muntu gw'otoliisa, sikutegeera.
Bingi by'onjogerako gy'oyita, nga tebisaana mu bantu.
Ggwe amanyi bwe nazaalako abaana ebweru wantama dda.
Fa ku bikukwatako mulamu nawe, ensi bweba.
Wajjanga netukuwa ebirungi n'olya naye kati ki?
Fa ku bikukwatako mulamu nawe, ensi bweba.
Wajjanga netukuwa ebirungi n'olya naye kati ki?
[Chorus]
Nze nkimanyi nti nafuuka wa musaayi gwamwe, mulamu wange.
Kyokka nenkudagira obunaku bwange, n'otofaayo.
Bwotyo ggwe abonyabonya obulamu bwange, nkwatulidde.
Nze nkimanyi nti nafuuka wa musaayi gwamwe, mulamu wange.
Kyokka nenkudagira obunaku bwange, n'otofaayo.
Bwotyo ggwe abonyabonya obulamu bwange, nkwatulidde.
Twakolanga tewali ajja okutuyamba, nga muteredde.
N'empisa ze wandaga sategeera nti olikyusa.
Obugagga bwa baze obutadde mu mikono gyo, tondaba nze.
Sso nga baze tanafa sajulanga na naku eno.
Mukufuna byemunyaze twelumyanga nga muteredde.
Saasira amabujje ge abaana bamwe mulamu wange.
Ye wa gyendibalaza okubakumakuma ne naku eno.
Ababo kabasome mukama bw'atyo ensi erikyuka.
[Chorus]
Nze nkimanyi nti nafuuka wa musaayi gwamwe mulamu wange.
Kyokka nenkudagira obunaku bwange, n'otofaayo.
Bwotyo ggwe abonyabonya obulamu bwange, nkwatulidde.
Nze nkimanyi nti nafuuka wa musaayi gwamwe mulamu wange.
Kyokka nenkudagira obunaku bwange, n'otofaayo.
Bwotyo ggwe abonyabonya obulamu bwange, nkwatulidde...repeat
NOTE: This song was composed,written and sang by Josephine Ndagire and not Prince Paul Job Kafeero (RIP)
Lyrics Submitted by Stephen Busagwa